Amawulire

aba palamenti bakuyonsa kyeere

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Abakyala abakolera ku palamenti naddala abayonsa  kati bakusobola okugenda ku mulimu n’abaana baabwe oluvanyuma lw’okugulwawo kw’ekifo webasobola okukuumira abaana bano n’okubayonseza.

 

Nga agulawo ekifo kino, sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ategezezza nga abakyala kati emitima bwegigenda okubabera awamu ku mirimu nga abaana baabwe babali kumpi.

Wabula akubirizza abagenda okukozea ekifo kino okukikwata obulungi n’obutaddamu kwekwasa nsonga zabaana obutajja ku mulimu.

 

Ekifo kino kiyoyoteddwa ku bukadde bwakuno 90.