Amawulire

Aba NUP begaanye okulemesa abagala obwa sipiika

Aba NUP begaanye okulemesa abagala obwa sipiika

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform bawakanyizza ebyogerwa nti, baliko bebalemesezza okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti.

Wiiki ewedde obukulembeze bwekibiina kino, batonzeewo akakiiko kabantu 5 okukola okunonyereza okuzuula mumntu ki gwebanawagira ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11.

Akakiiko kano kakubirizibwa Ssabawandiisi wekibiina David Lewis Rubongoya, wabula babadde tebanafulumya alipoota yaabwe ku mulimu ogwabaweebwa

Kati omowgezi wekibiiina kino Joel Ssenyonyi agambye wadde ekibiina tekirina gwekigenda kusimbawo kubwa sipiika, tebalina gwebalemesezza naye bagenda kusalwo okuwagira abavuganya, gwebanalabamu obusobozi.

Abavuganya kubwa sipiika kuliko Rebecca Kadaga nomumyuka Jacob Oulanyah nga bombi ba NRM.

Abalala kuliko Ssemujju Nganda owa FDC nomubaka omulonde owa Bukoto Central munna-DP Richard Ssebamala.