Amawulire

Aba NRM babalumiriza okugaba omusimbi mu lusirika

Aba NRM babalumiriza okugaba omusimbi mu lusirika

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2021

No comments

Bya Ritrah Kemigisa

Banakyewa mu mukago ogwa, Alliance for Finance Monitoring abalondoola ensasanye yensimbi mu byobufuzi mu bbaluwa yaabwe, efuluma bli luvanyuma lwebbanga eggere, gyebatuuma Secrets Known bategezezza ngabakiise ba NRM abapya abetaba mu lusirika bwebaweebwa obukadde 20 buli omu.

Ssnte zino zagabibwa eri ababaka 243, abetaba mu lusirika e Kyankwanzi olwakulungula wiiki 3.

Ssnekulu wekitongole kino Henry Muguzi agambye nti ababaka bakozesa omukisa guno okutegeeza omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni era ssente wekibiina nga bwebali mu mbeera embi eyobwavu olwa ssente empitirivu zebakozesa mu kalulu.

Kati Muguzi asabye gavumenti ya NRM bakomye okuyiwayiwa omusimbi mu byobufuzi, kubanga kirina engeri yamaanyi gyekikosaamu ebyenfuna bye gwanga nomutindo gwabakulembeze.

Wabula amyuka Ssabawandiisi wa NRM, Richard Todwong bino abiwakanyizza nagamba nti bano babawa akakadde 1 kamu, ngentambula olwokujja okwetaba mu lusirika luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *