Amawulire

Aba FDC banenyezza gavumenti olwokudibaga obuyambi eri abantu

Aba FDC banenyezza gavumenti olwokudibaga obuyambi eri abantu

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ab’oludda oluvuganga gavumenti mu kibiina kya FDC, bategezezza ngentekateeka yokugabira abantu emitwalo 10 ba mufuna mpola abaakosebwa mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe bweyali entekateeka yaabwe, wbaula gavumenti gyeyabukidde.

Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat agambye nti kino kyajira mu manifesito yaabwe, eboimu kwebyo byebasubiza bannaYuagnada nga bawenja akalulu.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanankumbi, Amuriat agambye nti ssinga baali balondeddwa mu bukulembeze baali bajja kuwa abantu emitwalo 10 okumala ebbanga lya myezi 6, okubayambako mu kiseera ekizibu ekyomuggalo.

Agambye ni era bbo mu ntekateeka yaabwe baali balubirirdde okuyamba banatu obukadde 5, abatesobola.

Kati wano wansinzidde okunenya gavumenti olwokudibaga entekateeka eno, songa nnungi ddala ebadde esobola okuyitwamu okuyamaba abantu.

Wabula Ssabaminisita we’gwanga Robinah Nabbanja azze agamba nti eno ntekateeka ye.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *