Amawulire

Aba DP 50 bagenze mu NRM

Aba DP 50 bagenze mu NRM

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2019

No comments

Bya Gertrude Lilian, Abatuuze mu disitulikiti y’e Bukomansimbi abasoba mu 50 okuva mu magombolola agakola agenjawulo bakyuse okuva mu kibiina kya Democratic Party ne badda mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.

Omukolo guyindidde ku kisaawe e Bigasa mu district ye Bukomansimbi abadde omugenyi omukulu Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa kwasinzidde naasaba banna Bukomansimbi bakome okulonda ababaka abatayagala kuliraana banna NRM ate ababatuusaako enkulakulana.

Minister Haruna Kyeyune Kasolo asinzidde ku mukolo guno naagamba nti banna Bukomansimbi basaanidde obutawuliriza kisinde kya People Power ekireekaana obureekaanyi

Sentebe wa NRM mu district ye Bukomansimbi Shafik Mwanje alayidde nti ku mulundi guno waakulaba nti disitulikiti y’e Bukomansimbi efuna ababaka ba NRM abawereko olwo abatuuze basobole okufuna ebirungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *