Amawulire

Aba CID bawandiisiza abatuuze abaliraanye abatemu webabadde battira Gen Katumba

Aba CID bawandiisiza abatuuze abaliraanye abatemu webabadde battira Gen Katumba

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Poliisi enonyereza ku buzzi bwemisango akawungeezi ka leero ewandisiza abantuze bonna abapangisa okuliraana oluguudo abatemu webabadde bagenda okuttira Gen Katumba Wamala.

Olunaku lweggulo abatemu abatanaba kutegerekeka balumbye Gen Wamala ne bakuba emotokaye amasasi agasse muwalawe ne derevawe.

Abakugu mu kunonyereza kwekusalawo okugenda okuwandiisa bonna abasula okulirana oluguudo luno

Ssentebe wekyalo Kisota, Julius Kisembo atubuulidde nti abatuuze babawandiise amaanya ne bagibwako enamba ze simu ne birala ebibakwatako.

Ono agamba nti poliisi yabasabye bakolagane nabo mu kunonyereza ku batemu era abatuuze kye bakoze.