Amawulire

Aba Boda boda basse gwebatebereeza obubbi

Aba Boda boda basse gwebatebereeza obubbi

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abagoba ba bodaboda mu gombolola ye Kibalinga e Mubende baliko omuvubuka gwebakubye emiggo egimusse, nga bamutebereza okubera omubbi wa bodaboda.

Ssentebe we gombolola ye Kibalinga, Mbonye Vanansiyo ategezezza nga obuttemu buno webubadde mu katawuni ke Lusalira ng’atiddwa tategerekese manya.

Akola nga omuddumizi wa poliisi e Mubende Ssekalema Hassana avumiridde ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo.

Kati poliisi omulambo egujjewo negutwaliddwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejebwa nga n’okunonyereza bwekugenda maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *