Amawulire

Aba boda boda balumirizza meeya Balimwezo okubefera

Aba boda boda balumirizza meeya Balimwezo okubefera

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abagoba ba bodaboda bakaayidde mayor w’e Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga, nebamulumiriza okubalimbalimba nti agenda kubawa pikipiki ku kibanja mpola.

Bano bagamba nti bagenda mu centenary bank, gyeyabatsindika, wabula bagenda okutukayo ngate babasaba emsingo mingi.

Bano bagamba nti enkola eno yali ya Kitongole kya Kampala Capital City Authority, nga President sente yeyazibawa nga ziyisa mu centenary banka nga mayor Balimwezo abadde aziwomamu omutwe.

Ye Mayor Balimwezo agambye nti enkola eno yali yabavubuka ng’abemulugunya ate ssi bavubuka basajja bakadde.

Wabula omwogezi awa Centenary Banka Allen Ayebale asabye abavubuka bano, okuleeta okwemulugunya kwabwe bakutunulemu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *