Amawulire

Aba Black monday bakwatiddwa

Ali Mivule

June 17th, 2013

No comments

 

 

Police ekutte Abawakanya ebikolwa by’obulyi bw’enguzi bana  nga bayita mu nteekateeka yaabwe gye baatuuma Black Monday Movt,.

Bano bebamu kubakedde okulumba kitebe kya ministry evunaanyizibwa ku by’ensimbi n’okutegekera eggwanga eby’ebnfuna.

Babadde baagala kulaga obutali bumativu bwabwe n’engeri omusolo gye gwayongezeddwamu ate ng’ababba ensimbi z’omuwi w’omusolo balya butaala.

Abakwatiddwa kuliko  Andrew Karamagi, Leonard Okello, Micheal Kabooneka ne  Emmanuel Muwanika era nga batwaaliddwa ku kitebe kya police wano mu kampala.

Bano babadde  banekanekanye mu ngoye enzirugavu, nga bakutte obugaali bu kawuuba obujudde omusenyu nga balaga obuzito bannayuganda abawa omusolo bwe beetisse.

Omu ku bbo , Andrew Karamaji agamba nti baagala gavumenti esooke esasuze ababbi ensimbi zonna ze banyaga eryoke ebinike ku bantu omusolo omuppya.

Oluvanyuma poliisi ebasatuludde n’ebakwata ne batwalibwa ku kitebe kya CPS mu Kampala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *