Amawulire

Omusajja omulala yesse e Mulago

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Mulago Hospital

Omusajja omulala yeekasuse okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku dwaliro e Mulago neyekata wansi nafiirawo.

Omugenzi ategeerekese nga nga  Kenneth Muhumuza nga abadde atawanyizibwa ekirwadde kyomutima yeenyiye naabuka okuva ku  mwaliriro ogwokuna paka ku taka.

Muganda womugenzi ategeerekese nga  Baguma Muhumuza  agamba omugenzi ono yasoose kwegezamu okwetta olunaku lwegulo nabamukwaata, wabula amakya gaalero abeemuluddeko neyekanyuga wansi neyetta.

Omulambo gwomugenzi gutwaliddwa mu gwanika nga abooluganda bwebateekaka ebyokuziika.

Ono yemuntu owokusatu okwesuula wansi emulago naafa mu banga lya sabiiti emu yokka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *