Amawulire

10 balidde obutwa

10 balidde obutwa

Ali Mivule

October 29th, 2015

No comments

File Photo: Abantu nga balya emere

File Photo: Abantu nga balya emere

E Gulu abantu 10 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulya  obutwa.

Abali obubi kuliko abaana 3 nga era balumiddwa embuto oluvanyuma lw’okulya kabalagala agambibwa okubeeramu obutwa.

Aberabiddeko n’agaabwe balumiriza nti omukyala atunda paani  Kevin Anena mu ka tawuni ka  Unyama yandiba nga yakikozesezza ttima okutabula obutwa mu menvu g’akubamu paani.

Omu ku bakulira eddwaliro lye Gulu Mohamed Mubiru ategezezza nga bwebakola ekisoboka okutaasa abalidde obutwa buno.

Atwala poliisi ye Gulu James Asubu  akakasizza bino n’ategeeza nga n’omukyala eyakubye kabalagala ono naye bwali mu ddwaliro ataawa olw’obutwa.