Amawulire

obuyumba bumenyeddwa

Ali Mivule

February 19th, 2013

No comments

mityana evictions 

Abakulembeze ba Mityana town council bakoze ekikwekweto nebamenya obuyumba bwa kiosk bwonna obuli mu tawuni, ekirese abasuubuzi nga balaajana.

Ekikwekweto abaserikale ba town council bakizoe mu matumbi budde ekiro nga abasuubuzi bagenze okutuuka ku mirimu nga obuyumba bwabwe ne maali byonna byalugenze dda.

Obuyumba obusuka mu 100 (kikumi) bwemumenyeddwa nga obwebibaawo bwononeddwa ate obwe bibaati bwo buboyeddwa nebutwalibwa ku wofiisi za Mityana town council.

Twogeddeko nabasuubuzi abaenjawulo nebalaga ennaku jebalimu nebanenya aba town council olwe kikolwa kino nga bagamba nti babade tebabalabulangako.

Tugezezaako okunoonya Town clerk wa Mityana Juliet Nakawuka nga tali mu wofiisi ne ssimu ye nga teriiko ate omumyuka we Gonzaga SSebulime nategeza nga bwatali mu kitundu