Poliisi y’e Kalisizo mu disitulikiti ye Rakai eriko munnansi w’eggwanga lya Tanzania gw’ekutte nga ateberezebwa okuwamba omuwala ow’emyaka 3.
Julian Nasuraje 52 omutuuze we Kalagwe y’akwatiddwa nga avunanibwa kuwamba muwala ategerekese nga Daphine okuva e Kinoni mu disitulikiti ye Lwengo
Atwala poliisi ye Kalisizo Regina Nansamba ategezezza nga Nasuraje bweyakwatiddwa oluvanyuma lw’okutemezebwako abatuuze oluvanyuma lwokumwekengera.
Nansamba agamba Nasuraje…
