Amawulire
Okulonda kwabakise babavubuuka kutandise
Okulonda kw’abakiise b’abavubuka mu palamenti kutandise mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Ebitundu ewakubibwa akalulu kuliko Kabarole nga eno ab’obugwanjuba gyebalondedde, mu bukiika kkono balondedde Gulu sso nga ab’amassekati bali Masaka. Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agamba ssibakulonda mu buvanjuba bw’eggwanga olw’ensonga ez’enjawulo zebakyakolako.