Amawulire
Okukozesa obubi yintaneti
Poliiisi yenyamidde olw’abantu abakozesa obubi omutimbagana gwa yintaneti nebateekako obubaka obukuma omuliro mu bantu obugendereddwamu okuleeta obutabanguko mu ggwanga. Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred enang ategezezza nti bazze balondoola ebitekebwa ku mutimbagano nebakizuula nti kati abasinga bakoowolerako balala kukola fujjo. […]