Amawulire
Embwa zilumbye abe Makindye
Abakulembeze mu gombolola ye Makindye embwa ezitaayaaya zongedde okubalumya emitwe. Kino kiddiridde abatuuze okwongera okwekubira enduulu ku mbwa zino eziva ku byokunonya ebyokulya ku kasasiro neziluma abatambuze. Kati Meeya w’egombolola eno Ali Mulyanyama agamba ekileese obuzibu bebananyini mbwa zino abatiisatiisa abobuyinza okubakuba mu mbuga z’amateeka […]