Amawulire
E Lwengo entobzzi bazimalawo
Abamu ku batuuze mu disitulikiti ye Lwengo beralikiridde olw’abantu abasusizza okusanyaawo entobazi. Abatuuze bagamba waliwo abesomye okusanyawo ebitoogo okukybamu amataffaali n’abalala okulimiramu. Ssentebe wa disitulikiti ye Lwengo George Mutabazi alabudde abatandise okusanyawo obutonde bwensi nti bakuvunanibwa kubanga bebavuddeko ekyeeya okugoya ekitundu kyabwe.