Amawulire
Amagye gogedde kukulonda
Gavumenti etegezezza nti abantu abalondedde okumpi n’enkambi z’amagye okulonda enyo abavuganya gavumenti tekitegeeza nti amagye tegawagira gavumenti eriko. Mu kulonda kw’obwapulezidenti n’bakulembeze bazidisitulikiti, ab’oludda oluvuganya gavumenti baasinze ku NRM obululu. Wabula amyuka akulira essengejero ly’amawulire ga gavumenti mu ggwanga Col Shaban Bantariza agamba kino tekitiisa.