Amawulire
Akulira ebyokulonda e’Mukono yegaanyi ebyokuba obululu
Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Mukono Sarah Namugambe yegaanye eby’okubbira Peace Kusasira akalulu k’omubaka omukyala owa disitulikiti. Kiddiridde munna DP Hanifah Nabukeera okuwera okuwakanya ebyavudde mu kulonda okuva mu bifo ebyenjawulo. Aba DP balumiriza mukyala Namugambe okugaana abalonzi n’abakiikirira abesimbyewo okubeeerawo nga obubokisi bw’obululu buggulwa.