Amawulire
Abakubi b’emiggo bazze
Ekibiina ekirwanirira bannamawulire ekya Uganda Human Rights Network kimenye obubinja bw’abakubi b’emiggo obugenda butiisatiisa bannayuganda. Bino bifulumidde mu alipoota oluvanyuma lw’okunonyereza okwakoleddwa wakati wa December 2015 ne January 2016 ku mugaso gw’ebitongole ebikuuma ddembe mu kulonda kuno okubindabinda. Akulira emirimu mu kibiina kino Patrick Tumwine […]