Amawulire
Abaakoseddwa amataba babadukiridde
Abatuuze be Kalungu abakoseddwa amataba kyaddaaki baddukiriddwa n’obuyambi bafune webegeka oluba. Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya basigala tebalina webegeka luba olw’amayumba gaabwe kumpi kubuliramu. Abatuuze abaasinze okukosebwa kuliko abokumwalo gwe Kamuwunga n’abalala. Kati bano bawereddwa ebintu nga emmere omubadde ensawo z’akawunga, […]