Ebyobulamu

Omugejjo mu baana abawere

Ali Mivule

August 12th, 2013

No comments

Baby fat

Abantu bangi bagaala nnyo okuzaala abaana abagimu naye nga ssinga kisukka, ate gayinza okufuuka amaziga

Mu ggwanga lya spain ,Baby eyazaaliddwa nga wa kilo 6 buli omu kw’asizza amaaso oluvanyuma lwa nyina okumuzaala nga talongoseddwa.

Omukyala omungereza ew’emyaka 40 yeeyazadde omwana ono era nga bebi ne maama tebalina mutawaana.

Bangi bakyewunya naye wali webuuzizza kiki ekivaako abaana okuzaalibwa nga banene nnyo.

Omwana owa bulijjo alina kubeera wakati wa kilo ennya oba essatu nga ssinga omwana yenna asukka wano gujabagira

Omwana eyakasinga obunene okuzaalibwa yalia weza kilo 10.’ekitundu kyokka nga yafa nga yakamalawo essaawa 11 ku nsi

Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti omukyala yenna bw’asukka okugejja ng’ali lubuto n’aweza kilo 20 abeera mu bulabe bw’okuzaala omwana yitiridde obunene