Olwali

Ono omukwano gumusudde eddalu

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

police-stop-wedding-proposal

Abantu bakola obumodi obutali bumu okusanyusa baganzi baabwe.

Kati yye omuvubuka abadde ayagala okusaba muganzi we okumukkiriza amufumbirwe abiyingizizzaamu poliisi.

Mat van ateesezza n’aba poliisi nebamukwata ne muganzi we nga batambulira mu mmotoka .

Babasanze batambula nebamusikayo  mu motoka era wano omuwala n’atandikirawo okukaaka.

Wano omupoliisi w’ajjiddeyo empingu naye nga mu kugyaawula munda agyemu empeta n’ajiwa omusajja era mu bulumi afukamidde wansi mu maaso ga muganzi we abadde akulukusa amaziga n’amusaba akkirize okumufumbirwa.

Omuwala ono naye tabadde mubi azzeemu nti yye.