Olwali

Omwana avudde waggulu n’agwa- Tamenyese

Ali Mivule

April 22nd, 2013

No comments

baby falls

Katonda akyakola ebyamagero.

Mu Germany, omwana owemyaaka 2 agudde okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku kalian wabula natafuna kisago kyonna wadde okumenyeka.

 

Maria Kohler yaagudde wabula naavawo nga mpaawo kibaddewo.

 

Omusawo gyebamututte ategeezezza nga omuwala ono bwaali owomukisa enyo era ayongere kutendereza katonda kubanga kizibu okuva ku mwaliriro guno notamenyeka.

 

Maama womwana ono  Melanie Kohler, 32, agamba kino kyewunyo kyenyini kubanga apple eyaakava ku mwaliriro guno negwa yonna yabetentuka.

 

Agamba yabadde agenze ku mulimu nebamukubira esimu nga omwaaana we bweyabadde afunye akabenje era yabadde tasuubira kumusanga nga akyaali mulamu.