Olwali

Kenzo yetondedde Kasuku

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Kusuku Kenzo

Kyaddaaki Munnamawulire waffe wano ku Dembe FM Kasuku Kuku wazabanga atabaganye n’omuyimba Eddy Kenzo eyakuyimbira akayimba ka sitya loosi.

Ababiri bano babadde ku mbiranye oluvanyuma  lwa Kenzo okulumba Kasuku mu lukungaana lwa bannamawulire mu baala lya Loftaz  nga amulumiziza okumwogerako ebyakalebule.

Kasuku yaddukira mu mbuga z’amateeka nga era Kenzo abadde asulirira kukwatibwa.

Wabula abategesi b’ebivvulu mu kibiina kyaabwe ekibataba nga bakulembeddwamu Balam bayise bano bombi nebakkiriziganya era nga Kasuku omusango wakugujjayo.

Kasuku agamba kyekiseera okwerabira enjawukana baggulewo essuula empya ne Kenzo era yye amusonyiye

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *