Olwali

Ka goonya kabasattizza

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Crocodiles in pool

Kubamu akafananyi ng’obadde owuga n’alaba goonya ng’eri mu kidiba ky’olimu.

Mu ggwanga lya Australia, gibadde misinde ate abalala batuuse n’okunywa amazzi okukirako ebyenyanja bwebalabye ka goonya nga kawuga nabo mu mazzi.

Omusajja abadde awuga y’asoose okulaba ka goonya kano era n’asooba mpola kyokka nga bw’akoonye ku abadde amulilaanye ekubye enduulu olwo ensitaano n’etandika mu mazzi.

Abalabirira ekidiba kino bagenze okukkanya abantu emitima nga bangi bamaze okunywa amazzi kyokka nga bano bategeezezza nga ka goonya kano bwebakasudde mu mazzi okuwugako era nga kabadde kato nnyo okulya omuntu yenna.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *