Olwali

Eyali muka Woods waakusula nga muloodi

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

elin's-house

FLORIDA

Eyali muka Tiger Woods Elin Nordegren eby’okusula ng’omunaku yabikoowa, era w’osomera bino amaka g’azimba mu kitundu ky’abagagga ekya North Palm Beach mu Florida gali kumpi kuggwa.

Jjukira nti mwana muwala ono yafuna obuwumbi 260 ($100m), era kw’ezo kwe yatoola ezimuyambye okuzimba amaka gano agagenda okubeera nga gatemagana nga mukene era nga gasangibwa ku bbiici. Nordegren waakugabeeramu n’abaana baabwe okuli Sam ow’emyaka etaano ne Charlie ow’emyaka esatu.

Waliwo ababadde bagamba nti Tiger yasabye Nordegren amusonyiwe, kyokka kirabika si bituufu kubanga abalala bagamba nti mwana mulenzi ono omuze gw’obwenzi tegumuggwangamu, anti kigambibwa nti aliko embooko endala gy’alina ebiro bino eyitibwa Lindsey Vonn.