Amawulire

Kiprotich azzeemu okuwangula zaabu

Ali Mivule

August 17th, 2013

No comments

Kips

Stephen Kiprotich azzeemu okuwangula zaabu mu mpaka z’omutolontoko( Marathon)

Ono afuuse ow’ebyafaayo ssi nti kubanga muddusi mulungi kyokka wabula nti ne mu ggwanga akoze ekyafaayo.

Ye muddusi ow’okubiri okuwangula omudaali gwa zaabu ogw’omuddiringanwa  nga ku luno addukidde essaawa bbiri n’edaakiika mwenda n’obutikitiki 51.

Omwaka oguwedde, Kiprotich yanazaako Uganda ennaku bweyawangula omudaali gwa zaabue myaka 40 nga Uganda eviiramu awo.

Guno gwemudaali gwokka Uganda gw’eggye mu mpaka zino eza olympics ezikomekkerebwa olunaku lw’enkya mu kibuga Moscow ekya Russia