Amawulire

Kiprotich alidde nga mulimi

Ali Mivule

August 23rd, 2013

No comments

Kiproticj meets M7

Embeera eyongedde okutereera eri omuddusi Stephen Kiprotich

President Museveni amuwadde emmotoka ekika kya Mitsubishi Pajero n’enyumba

President era abaddusi bonna abagenda e Moscow mu gya babinyweera nabo abawadde obukadde kkumi buli omu.

N’oluguudo olugenda ku kyaalo kiprotich gy’ava lwakukolebwa n’obuyambi okuva mu banka y’ensi yonna.

President okukola bino abadde asisinkanye  ekibinja ekyakiikirira Iganda mu mpaka zino mu Russia.

President agambye nti kino akikoze okusikiriza abantua balala abalina ekitone mu misinde okukikozesa.

President era asuubizza nti buli muddusi anawangula nga zaabu wakufunanga ensako ya bukadde butaano ate aleeta siliva afune obukadde 3

Kiprotich yawangula empaka z’emisinde gy’omutolontoko egya bannantameggwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *