Emizannyo

Mamba Gabunga ewereddwa

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Emmamba ewereddwa

Mu Mpaka zemipiira gyebika,e Mmamba Gabunga egobeddwa mu mpaka z’omwaka guno olw’okujeemera embuga nebagaana okusamba omupiira n’ekika kya Kakoboza.

Ebika bino byombi by’alina okusamba omupiira ku lwokusatu lwa week ewedde nga 10th July omwezi guno,wabula e Mmamba Gabunga n’egaana okulabikako ng’ewakanya ekya Kakoboza okutongozebwa nga ekika ekirala okuva ku Mmamba.

Sentebe wakakiiko akategesi k’emipiira gy’ebika Owek. Sebaana Kizito ategezezza nga kino bwekikontana n’okusalawo okwakolebwa Ssabassajja ,bweyatongoza Kakoboza nga ekimu ku bika bya Buganda  ataano mw’omukaaga ( 56 ) nga 17th Feb 2005.