Emizannyo

FUFA esengejja nkya

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

FUFA prezo FUFA

Akakiiko akakubiriza okulonda kwa Fufa olunaku lwenkya lwekagenda okutuula okwekenenya abo bonna abajjayo empapula okwesimbawo kubukulembeze bwa Fufa.

 
Omumyuuka wakakiiko kano,Vincent Sajjabbi ategezezza nga bwagenda okuwa buli yesimbyewo edakiika amakumi 30 okwenyonyolako nokuwayo empapula ezetegasa okwesimbawo.
Abesimbyewo bali basatu (3) okuli Moses Magogo,Omukiise wa parliament akikirira amasekati ga Kampala Mohammed Nsereko wamu ne Taban Amin,mutabani wa eyaliko omukulembeze wa Uganda Idi Amin Dada.
 
Ssajjabbi ayongedeko nti abo bonna abanaaba batukirizza ebisanyizo bakuvuganya mukulonda okusuubirwa okubaawo nga 31st August omwaka guno e’Njeru Technical Centre.