Emizannyo

Egya masaza

Ali Mivule

May 7th, 2013

No comments

Masaza cup

Empaka zamasaza ga Buganda zitongozebwa leero ku Bulange.

 

Katikiro wa Buganda owek.JB Walusimbi asabye abawagizi okweyisa obulungi nokukomya effujjo kubisaawe era asabye ne team ezigenda okuzanya empaka zino ,okwolesa omupiira nomutindo omulungi.

 

Yo company ya Gal Sports Betting ewaddeyo emipiira 100 eri team zonna ezigenda okwetaba mumpaka zino.

Akulira ebyemizanyo mu government ya Ssabassajja owek Herbert Semakula ategezezza nga olunaku oluggulawo empaka zino nga bwelukyusidwa okuva nga 18th nezitwalibwa  paka nga 25th omwezi guno.

 

Kooki yegenda okuggulawo nga 25th omwezi guno bwenaaba ekyazizza Buddu kukisaawe kye Maanya.