Emboozi

Balotelli ayaniriziddwa na ttiya ggaasi mu Milan

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Balotelli e Milan

Abawagizi nga baaniriza Mario Balotelli amangu ddala nga yaakatuuka mu Milan.

MILAN

Mwana mulenzi Mario Balotelli buli w’abeera effujjo limulondoola. Bwe gutyo bwe gwabadde nga Balotelli yaakamala okwegatta ku kiraabu ya AC Milan eyamuguze obuwumbi 82 (£20m) okuva mu Manchester City. Balotelli yabadde yaakava ku nnyonyi abawagizi abaabadde bamulindiridde ku wooteeri eyitibwa Giannino Restaurant ne batandika okukuba ebiriroliro nga bwe bazina naye.

Kyokka abapoliisi abaabaddewo baagenze okulaba nga biyinza okuvaamu effujjo bwe batyo kwe kugezaako okukuuma obutebenkevu, kyokka abawagizi baatandise okukasuka eccupa, okukakkana ng’omu ku bapoliisi alumiziddwa era naatwalibwa mu ddwaliro.

Ebyo olwawedde, Balotelli yatwaliddwa ku ddwaliro lya Busto Arsizio okukeberwa, era obwedda ye n’omumyuka wa Pulezidenti wa AC Milan Adriano Galliani baabadde bakubirwa mizira. Teyakomye awo, Balotelli yawambye emiko egiwerako mu mpapula z’amawulire ezisinga obuganzi ng’olwa La Gazzetta dello Sport.

Balotelli waakusisinkana nnannyini kiraabu eno Silvio Berlusconi olwaleero, era kigambibwa nti emijoozi egisoba mu 1000 gyamaze dda okutundibwa. Balotelli agenda kwambala omujoozi oguliko nnamba 45 nga bwe yakola ng’akyali mu Inter Milan ne Man City.

Mario  Balotelli ne Adriano Galliani.

Mario Balotelli ng’asisinkanye Adriano Galliani.