Ebyobusuubuzi
Olunnaku lw’obwegassi lutuuse
Bya Benjamin Jumbe
BannayUganda basabiddwa obutasulirira bwegassi lwebanasobola okutuuka ewala.
Omulanga guno gukubiddwa minister ow’ebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde, wakati mu kwetegekra aolunnaku lwebibiina byobwegassi, olunakwatibwa nga 7th July 2019.
Bino abigetegezza banamawulire ku meadia Center wano mu Kampala, ngagambye nti mu gwanga mulimu ebibiina omutwalo 1 mu 9,700 wabulanga okusomozebwa kwebasanga kwetoloolera ku byabukulembeze, no’kubulankanya kwensimbi.
Wabula Kyambadde agambye nti gavumenti ekola kyonna ekisoboka, okutereeza byonna nokumalawo ebyo ebitatambula bulungi.