Ebyobusuubuzi
NSSF erabudde ku kwanguwa okujjayo ssente
Bya Ndaye Moses
Ekitavvu kyabakozi ekya National social security fund kisabye, abakozi okwewalanga okujjayo ensako yaabwe, nga tebasoose kulaga entekateeka nnungi eyokusigamu ensimbi ezobukadde bwabwe.
Mu tteeka lya NSSF eppya abakozi basobola okujjayo ensimbi zaabwe ku myaka 45 okwawukana kunkola ebaddewo eyemyaka 55.
Wabula managing director wa NSSF Dr. Richard Byarugaba agambye nti waddenga kino kirungi, naye ate kyabulabe ssinga omuntu tatekateeka bulungi.
Alabudde nti abantu 98% abajjayo ensimbi zaabwe, bamaliriza bazonoonye.
Byarugaba bino abitegezezza ba memba ba NSSF mu musomo, gwebatuumye Money literacy talk conference ogubadde mu Kampala.