Ebyobusuubuzi

Kalantiini erangiriddwa e Lyantonde néMayuge

Kalantiini erangiriddwa e Lyantonde néMayuge

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad ne Abubaker Kirunda

Abatwala ebyebisolo mu district ye Lyantonde bagadde obutale bwente, oluvanyuma lwokubalukawo kwekirwadde kya kalusu mu district ye Sembabule.

Kati akulira ebyebisolo mu district ye Lyantonde Dr. Ronald Bameka yalangiridde, nga bwebagadde obutale bwonna.

Óbutale obukoseddwa kuliko ake Lyakajura, Kashagama ne Kyemmamba obuli ku nsalo ne district eno.

Wabula abamu ku balunzi tebakisanyukidde.

Andrew Musasizi agambye nti waliwo nabakukusa ente okujizza e Tanzania, nga balabika bebaviriddeko ekirwadde obutagwawo.

Kati nemu district ye Mayuge balangiridde qualanatini, ku kutambuza ebisolo.

Omumyuka wakulira ebyebisolo mu district eno Dr Mathias Kasadha, agambye nti kuno kuliko nobutatambuza maka, amaliba ne nnyama okusobola okwewala ekirwadde kino obutasasaana.

Agambye nti ekiragiro kya quarantine kyavudde mu ministry yebyobulimi obuvubi nobulunzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *