Ebyobusuubuzi

Gavumenti erabudde kampuni za ttaaba
Bya Magembe Sabiiti
Ministry yeby’obusuubuzi erabudde kampuni ya Nimatobaco ne ginaayo eya Continental nga kigambibwa nti baagula taaba ku balimi mu district ye Mubende nebagaana okubasasula.
Ministry erabudde nti tebagenda kuzza bugya layisinsi zaabwe kubanga tebayinza kugumnikiriza bubbi, obwenkukunala.
Abalimi okuva magombolola okuli Madudu Nabingoola, Butoloogo, Kibalinga nawalala bemulugunya nti babanja kampuni zino obuwumbi 3.
Atwala ebibiina by’obwegasi n’obusuubuzi mu district ye Mubende Namirembe Slivia akakasizza nti gavumenti, ensonga yeziyingiddemu.