Ebyobusuubuzi
Banabyanfuna boogedde ku banka yekisiraamu
Bya Ivan Ssenabulya
Banabyanfuna bagumizza abakristaayo, ku kutya kwebalina ku kutereka ssente mu nkola yekisiraamu, oba Islamic banking, egenda okutandika okukozesebwa.
Banadiini abataba enzikiriza ezekikristaayo, wansi wa Uganda Joint Christian Council bavaayo okuwakanya enkola eno, nebagamba nti tebajitegeera atenga erabika erubiridde kukwenyakwenya okukyusa bakiriza okubazza mu busiraamu.
Kati obubaka obwanukula bano, bwebwatikidde emizkiti ezenjawulo olunnaku lwe ggulo, okuva mu bamasheika.
Wabula bwabadde ayogerko naffe, munnabyanfuna Dr. Fred Muhumuza asabye abantu bonna, okwaniriza enkola eno, kubanga erubiridde okukyusa embeera zabantu, eranga alina esuubi nti yaakuyamba ebyenfuna bye gwanga.