Ebyobusuubuzi

Abwakabaka butadde amaanyi mu bwegassi

Abwakabaka butadde amaanyi mu bwegassi

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abakulembeze b’obutale bwa Ssaabasajja Kabaka basisinkanye ninisita ow’obwegassi, ettaka, obulimi n’obutonde bwensi, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo n’omumyuka we Hajji Amis Kakomo ku Bulange e Mengo.

Ebismbiddwako amannyo mu nsisinkanye eno, ebadde egenderedde okussaawo ebibiina by’obwegassi mu bantu naddala abakolera mu butale.

Owek. Mariam agambye nti tewali ngeri yonna gyoyinza kutwala mulimu gwonna mu bantu nga tukubirizza, basubiuzi okubeera obumu, kalenga obwakabaka bwagala okutuusa enkulakulana mu bantu abali obumu.

Owek Mariam era ayagala waberewo okwesigangana, okwewala obubbi.