Ebyobusuubuzi

Abatembeeyi baakuweebwanga pamiti

Abatembeeyi baakuweebwanga pamiti

Ivan Ssenabulya

March 20th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abatembeeyi abatambuza ebintu mu Kampala bakkiriziganyiza okutandika okusasula permit ezibakkiriza okukakalabya emirimu gyabwe nga tewali abakuba ku mukono.

Kino kidiridde abatembeyi okwemulugunya ku bakwasisa amateeka mu kitongole kya kcca okubatulugunyanga no ku batwalako emmali yaabwe.

Bwebabadde mu nsisinkano ne lord mayor wa kampala erias lukwago abatembeyi bakkiriza okusasulayo aka sente basobole okubafunira permit ezibasobozesa okolera mu kibuga.

Lukwago agambye nti wa kutuula ne bakulu banne bakanye ku sente meka abatembeyi ze balina okusasula okufuna permit.