Ebyobusuubuzi

Abasuubuzi baakusasulwa

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

traders in Kenya lose

Gavumenti ya Kenya akkirizza okuliyirira abasuubuzi bonna abafiirwa amaali yaabwe mu kwekalakaasa okwaali mu Kenya nga balonda omukulembeze mu mwaka 2007.

Mu kulonda okwaaliwo, abantu abawera bafiirwa ebintu byaabwe nga muno mwemuli ne bannayuganda ate ng’abantua basoba mu 1000 bbo balusuulamu akaba

Ssabawandiisi w’omukago gw’amawanga ga East Africa Richard Sezibera ategeezezza bannamwulire nti bakyakola ku bisembayo nga bakolagana ne minisitule ya Kenya ekola ku by’ensimbi n’oluvanyuma balabe ekiddako

Sezibera abadde ayogerera mu lukiiko lw’amawanga ga East Africa e Ntebbe