Ebyobusuubuzi

Abasubuzi bekalakaasa lwa kasasiro
Bya Magembe Sabiiti
Ekifananyi kijiddwa mu bikadde
Abatuuze mu Zooni ya Kirungi, mu South Division mu munispaali ye Mubende, bavudde mu mbeera nebayiwa kasasiro mu nguudo, nga balaga obutali bumativu eri abadukanya ekibuga olwa kasasiro.
Abantu mu kitundu kino omuli, abamaduuka nabatunda eby’okulya, bagamba nti kasasiro asusse mu kitundu kino nga tayolebwa.
Wabula Mayor, Eng Innocent Ssekiziyivu, agambye nti obuzibu buva mmotoka, ezitamala okuyola kasasiro.