Ebyobusuubuzi

Abantu bazze ku mata ga bipipa

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Milk prices up

Ekitongole ekigatta abasunda mata kigamba nti omusolo ogwassibwa ku mata amalongooseemu guleeseewo okukusa mu mulimu gwaabwe

Mu mbalirira y’omwaka guno, gavumenti yalangirira omusolo gwa VAT ku mata amalongooseemu n’ekigendererwa ky’okugaziya ensawo y’omusolo.

Ng’ayogerera mu musomo gwaabwe, omu ku bali mu kibiina kino Robert Walimbwa agambye nti abantu kati basazeewo kugula mata ga mu bipipa kubanga tebasobola mata malongoseemu

Okusaba kwe kuli nti omusolo guno gwandibadde gukendeezebwa okulaba nti abantu tebagula mata mafu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *