Ebyobusuubuzi

Abalimi b’ebikajjo basanyufu

Abalimi b’ebikajjo basanyufu

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abalimi bebikajjo mu district ye Mayuge batenderezza omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni ku kyeyakoze okuyimiriza okuteesa ku bbago lya ssukaali, lyebatuuma Sugar bill, okutuua nga buli akwatibwako yebuziddwako ekimala.

Ebbago lino lyali lyayisbwa palamenti, wabula ababaka nga bagaanye ekya zoning oba okwawulamu ebitundu, awokulimira ebikajjo nokutunda, naye omukulembeze we gwanga yaligoba bweyagaana okulitekako omukono.

Kino kibadde kitegeeza nti abalimi batekeddwa okutunda ebikajjo byabwe mu bitundu ebyo byokka, byebalimu okusinziira bwebatemwamu mu bugazi bwa kilometer 25 nawali ekkolero.

Abasing ku balimi bawakanya ebbago lino nti lyakubakugira webatunda ebikajjo byabwe, nokubateeka mu bwavu ngagula ali omu era abawa obusente opbutono bwayagadde.

Ssentebbe owekibiina kya Mayuge sugarcane farmers Hamis Nhote, agambye nti eyokuyimiriza ebbago lino baakisanyukidde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *