Ebyobusuubuzi
Abaddabiriza amabibbiro bakutendekebwa
Bya prossy Kisakye, Ekitongole ekivunanyizibwa okufulumya amasanyalazze mu ggwanga ki Uganda electricity generating company limited (UEGCL) nga kiyambibwako abakugu okuva mu ggwanga lya America batandise kawefube w’okutendeka bannayuganda abagenda okudabiliza amabibiro gamasanyalazze okuli Isimba ne Karuma mu kiseera nga getaaga okudaabiliza.
Akulira ekitongole kino DR.Eng. Harrison Mutikanga agamba kati eggwanga, basobola bulungi okwetendekera bannayuganda nga bayambibwako abakugu okuva mu mawanga egenjawulo basobole okendeeza kunsimbi ezibadde zisasanyizibwa gavumenti nga ereeta kuno abakugu.
Mutikanga era ategezeza nti tebagenda koma ku kutendeka bagenda kola ku bbibiro lya Isimba lyoka wabula namabibiro amalala.
Ono mungeri yemu ategezeza nti singa enteekateeka yokutendeka abakugu eggwa, bannayuganda bakufuna amasanyalazze ku beeyi eyawansi.