Ebyobusuubuzi

Aba St Balikuddembe bawereddwa amagezi bateese

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Owino Market

Abasuubuzi b’omu katale ka Owino bawereddwa amagezi okwegatta bakolere wamu oba sikyo  sibakuganyulya mu kya kooti okulangira KCCA okubaddiza ekyapa kyaabwe.

Kooti ya City Hall yalagidde KCCA okuwa abasuubuzi bano ekyapa kyabwe ,oluvanyuma lw’okusasula obuwumbi 4 obwa liizi nga era ekyapa kirina kubeera mu manya g’ekibiina ekigatta abasubuzi bano ekya SLOWA.

Wabula abamu ku bakulembeze b’ekibiina kino tebakkiririza mu bukulembeze bwa sentebe wKayongo  Nkanja  era nga bano bakulembeddwamu  John Baptist Kivumbi.

Kansala wa Kisenyi  Salim Uhuru agamba abasubuzi bano balina okuteeka enjawukana zaabwe ebbali bakolere wamu bakulakulanye akatale kabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *