Ebyobusuubuzi

Aba Crane Banka babanja obuwumbi 27

Aba Crane Banka babanja obuwumbi 27

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2019

No comments

Bya Kyeyune Moses

Abaali bakulira Crane Bank Limited balajanidde akakiiko ka palamenti aka COSASE, okunonyereza, bazuule wa ensimbi eziri mu buwmbi bwa dollar 8, gyezalaga.

Ssente zino ezibalirirwamu obuwumbi bwa kuno 27 abemigabo baali bazewola mu kiseera kyokujiggala mu mwaka gwa 2016, nga kati bagala zibadizibwe.

Bwebabadde balabiseeko mu kakiiko kano nga bakulemebeddwamu eyali nanini banka eno Sudir Rupaleria, eyali ssentebbe waayo Joseph Biribonwa tebayinza kumanya, kiki ekyaddako nga banka egaddwa.

Ate katemba abadde mu kakaiiko kekamu ku nsonga za Cooperative Bank limited.

Ababaka bakizudde nti banka 2 ezenjawulo zawandisibw era neziweebwa layisisnis mu linnya lyerimu.

Mu kusooka layisinsi yagabibwa mu 1964 ate endala mu 1997, mu mannya ga Cooperative Bank.

Kati ababaka babadde bebuuzaddala banka ki eyaggalawa.

Cooperative Bank yaggalwa mu mwaka gwa 1999, nga yeemu ku banka ezebyobusubuzi 7 ezinonyerezebwako.