Ebyobulamu

Teri kujjawo musoso ku Kondomu

Ali Mivule

October 1st, 2013

No comments

Condom

Ekitongole ekikola ku by’eddagala mu ggwanga ekya National Drug authority kyewozezzaako ku musolo ogujjibwa ku bantu abayingiza obupiira bu galimpitawa mu ggwanga

Bano bagamba nti ensimbi ezijjibwa ku bantu bano ziyamba mu kwekebejja bupiira buno okulaba nti butuukagana n’omutindo.

Omwogezi w’ekitongole kino, Fred Sekyana agamba nti ensimbi zino wabula bafuba okuzikuumira wansi okusobozesa buli Muntu okuyingiza obupiira.

Ono agamba nti tebasobola kukoma kwekebejja bupiira ate nga tebalina nsimbi zaabwe zebassaamu