Ebyobulamu

Siliimu bongedde okumunafuya

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

borne marrow

Ababadde abalwade ba siriimu 2 baggyiddwa ku ddagala eriweweza siriimu oluvanyuma lwokukyuusibwa obusomyo bwomumagumba nekizuulibwa nga bwebabbadde tebakyalina kawuka kaleeta siriimu.

Omu kubbo kati amaze emyeezi 4 nga tamira dagala lino wabula nga tafunanga kabonero kalaga nto akawuka ka siriimu kandidda mumubiri gwe.

Ebiseera ebisinga eddagala eriweweza siriimu omuntu bwalimira akawuka kadduka nekeekweka mu busomyo nga kavudde mumusaayi, wabula bwolekerawo okulimira nga kakomawo.

Kizibu akawuka akaleeta siriimu okukajja mumubiri olwokwekweka mu bitundu ebirala bwekaba kaduse mumusaayi.

Wabula abasawo balabuddeabantu obuteyibaala kubanga edagala lya siriimu terinazuulibwa.