Ebyobulamu

Okukozesa akaweta kukendedde

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

IUDs

Abebyobulamu mu ggwanga bakizudde nga enkozesa yakaweta mubakyaala nabaami okulongoosebwa enseke ezitwaala enkwaaso kukendedde.

Okunoonyereza kuno kukoleddwa aba Marie stopes uganda nga kyekitongole ekyaaweebwa olukusa ministry yebyobulamu okusaasanya enkola ze kizaala gumba zino.

Okunoonyereza kulaga nga abantu abasing bino bwebaabivaako edda era bazaala buzaazi.

Eyakulidde okunoonyereza kuno Lois Nantayi agamba ekisinze okuletawo kino kwekuba nga nabantu bamanyi kitono kunkola zino.

Wabula ye akulira  MarieStopes Uganda John Copper aamba baatandise dda okusomesa abantu kunkola zino ebiri ezekizaala gumba zeyongere okwetanirwa.

Copper agamba enkola zino zikolera dala ate nga tezirina bulabe bwonna.